Obwakyabazinga bwa Busoga bujaguzza amatikkira ag’emyaka 9 aga Kyabazinga Gabula Nadiope IV.
Emikolo gy’amatikkira giyiindidde e Bugembe mu Jinja.
Gabula yatikkirwa nga 13 September,2014.
Kyabazinga asabye abantu okujjumbira okusimba emiti ate bajirabirire, nokukuuma obutonde bwensi bwonna obubeetoolodde.
Kyabazinga era asabye abavubuka okubeera abayiiya mu mbeera yonna okusobola okusima omusingi omugumu ogwe biseera byabwe ebyomumaaso.
Kyabazinga era akaatirizza nti obwakyabazinga bwa Busoga tebutunda ttaka, era buli muntu ayagala ettaka mu Busoga alina kufuna liizi.
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa mu bubaka bwe obusomeddwa omumyuka wa ssabaminister asooka era minister w’ensonga z’amawanga g’omukago gw’obuvanjuba bwa Africa Rebecca Alitwala Kadaga, asabye abakulembeze b’ennono okukuuma ennono n’ennimi ennansi nti kuba buno bwe bugagga katonda bweyabawa.
Museveni era agambye nti abakulembeze basaanye okulungamya emikolo gy’obuwangwa omuli nokuwasa.
Ku mukolo guno ogw’amatikkira ga Kyabazinga, Obwakabaka bwa Buganda bukiikiriddwa minister w’olukiiko ne cabinent Owek.Noah Kiyimba, minister w’ebyobulimi Owek.Hajji Hamis Kakomo n’Omulangira Edward Walugembe.#