Abamu ku bategesi b’ebivvulu bekozeemu omulimu nebalonda obukulembeze obuggya, nga balumiriza munaabwe Balaam Barugahare okubakozesa ensobi.
Abategesi b’ebivvulu bano begasse ne bamanager b’abayimbi nebatongoza Federation ebagatta, mwebagenda okuyita okutuusa ensonga zabwe ezibaluma.
Bakulembeddwamu Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex, Benoni Kasenene, Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo, Nkuke Robert owa Mutima entertainment, Yasin Kaweesi n’abalala basinzidde ku Kenlon Hotel e Mengo, nebalangirira nti Abtex ye President wabwe omuggya agenda okuggusa ensonga zabwe.
Abby Musinguzi nga kati ye President wa Federation of Uganda Event’s organisers and Promoter’s Association (FUPA) agambye nti babadde bakooye Federation ezirina abaana n’ebyana, nawera agenda kuweereza bannayuganda kyenkanyi awatali kusosola.
Abitex agambye nti tebagenda kukkiriza muntu yenna ayingiza byabufuzi mu Federation.
Andrew Mukasa Alfunso amanyiddwa nga Bajjo ye mwogezi wa Federation eno, agambye nti Balamu abadde abakozesa okutuukiriza ebigendererwa bye ng’omuntu, n’agamba nti bagenda kukola ekisoboka kyona okulaba nga batereeza omulimu guno ogubadde gufuuse ogw’abafere.
Wabula Baramu ategezezzanti ye abeyawudde ku mugendo tabagaana, wabula akadde konna agenda lukulemberamu banne abasigadde naye bakole ekibiina ekigatta abategesi b’ebivvulu bonna.
Abalala abalondeddwa Federation of Uganda Event’s organisers and Promoter’s Association; Yasin Kaweesi ye Ssaabawandiisi, Tonny Ssempijja, Dauglas Lwanga, Travis Kazibwe (Dr Tee) Sam Mugagga n’abalala.
Bisakiddwa: Ssendegeya Mohammed