Abasomesa abali mu masomero g’obwananyini balayidde nti tebagenda kudda ku noni kubanga eggwanga liraze nti ebyokusosowaza ensako yabwe buli omu tabiriiko.Bano baali basaba gavumenti ebakwasizeeko mu muggalo ebawe ensimbi, wabula obuwumbi 20 ezabaweebwa bagamba ntono nnyo kubanga bwebazigabanyaamu, buli musomesa afuna 5000 zokka. Abasomesa mumasomero gano bangi bamaze emyezi 7 nga tebafuna musaala kubanga amasomero omwandivudde ezibasasula gaggalwawo.