Abasirikale ba police omutwalo mulamba bebaawandiisiddwa n’okutendekebwa, mu nteekateeka y’okwongera okukuuma emirembe mu kalulu akajja 2026.
Ssaabaduumizi wa Police ya Uganda IGP Abas Byakagaba abyogeredde ku kitebe kye kitongole kya police ekya ba mbega e Kibuli mu Kampala, bwabadde asisinkanye abamu ku bambega abakola ne kitongole kino mu enteekateeka yokunyweza ebyokwerinda bye ggwanga.
Byakagaba agambye nti batonzeewo n’ebitundu ebirala bisatu ebirambika obudduumizi n’obuweereza bwa police mu ggwanga, okusobola okutuuka ku bantu ba bulijjo mu bitundu.
Police era etongozza n’ekizimbe ekyenjawulo ewagenda okusunsulibwa emisango gy’obumenyi bw’amateeka eginaawaabwa ku police egyekuusa ku by’okulonda, nga beyambisa enkola eya tekinologiya ow’omulembe.
Byakagaba agambye nti obutebenkevu obugenda okubeera mu kalulu k’omulundi guno tebubeerangawo, era bannauganda tebasaanye kuba nakweralikirira kwonna, kuba beteeseteese ekimaala okubakuuma.
Ssabapolice agambye nti nga bakolera wamu n’ebitongole by’okwerinda ebirala baakuwa bannauganda obukuumi obwetagisa, okulaba nga akalulu ka 2026 bakavamu nga tewali akoseddwa wadde afiiriddemu.
Ssabapolice ategezeza nti mukakafu bulungi nti tewali agenda kutabangula mirembe mu ggwanga lino, najjukiza abantu bonna naddala bannabyabufuzi okutava ku mateeka gabaweereddwa kakiiko ka byakulonda, okwewala emitawaana.













