Ekibiina omwegattira abasawo mu ggwanga ekya Uganda Medical Association, (UMA), ne ministry y’ebyobulamu balabudde ku ky’okusala embalirira y’eby’obulamu ey’omwaka gwebyensimbi 2024/2025 eri mu bubage nti kino kyandiviirako eggwanga okukosebwa mu by’obujanjabi.
Okusinziira ku mbalirira yeggwanga ekyali mu bubage, eyomwaka gwebyensimbi 2024/2025 government gyeyayanjula mu parliament ku ntandikwa y’omwezi guno ogwa January, embalirira y’ebyobulamu yasaliddwa okuva ku trillion 1 n’obuwumbi 692 okutuuka ku trillion 1 n’obuwumbi 56, bwe buwumbi 640 ezaakendeezeddwa ku byobulamu.
Abasawo mu kibiina ekibataba ekya Uganda Medical Association, (UMA), nga bakulembeze president waabwe, Dr Herbert Luswata, bagamba nti ekyokusala ensimbi zeebyobulamu kyakwongera kusajjula mbeera mu ggwanga gyebakoleramu, n’okukosa abantu abetaaga okufuna obuweereza obwnejawulo mu by’obulamu.
Eddwaliro ekkulu erye Mulago lyasaliddwako obuwumbi 4 okuva ku buwumbi 129 okukka ku buwumbi 125.
Ensimbi z’eddwaliro erijanjaba abalwadde ba kkookolo erya Uganda cancer institute nazo zasalidddwako obuwumbi 12 okuva ku buwumbi 102 okukka ku buwumbi 90.
Eddwaliro lya kkookoolo erya Uganda cancer institute emyaka gyonna abalikulira babadde balaajaana olw’ensimbi entono eziriweebwa, so ng’ekirwadde kya kookoolo kyeyongera buli olukya mu bannansi.
Wabula ddyo eddwaliro lyemittima erya Uganda Heart Institute embalirira yaalyo eyongeddwako okuva ku buwumbi 68 okutuuka ku buwumbi 105.
Ensimbi eziweereddwa ekitongole ky’eggwanga ekigula n’okusassaanya eddagala mu malwaliro ga government ki National medical store zasigadde zezimu nga zekyafuna omwaka guno 2023/2024 obuwumbi 587, wadde wabaddewo okulaajaana okuva mu malwaliro agenjawulo olw’ebbula lyeddagala nebikozesebwa mu malwaliro.
Emyaka gyonna abali mu buweereza bw’ebyobulamu babadde mukusoomozebwa olw’ensimbi entono eziweebwa amalwaliro okutuusa obuweereza eri bannansi ,nga mangi kugo alipoota ezize zikolebwa zibadde ziraga nti gali mu mbeera mbi ,ebikozesebwa bitono ,abasawo basasulwa bubi, ebyuuma ebyekikugu tebiriiyo songa neebyo ebitono ebiriyo abakugu abalina okubikozesa batono, abasawo ba intern babsdde bekalakaasa enkya ne ggulo.
Mu kusoomozebwa okw’engeri zino, abantu abalinawo ku nsimbi basalawo okuddukira ebweru w’eggwanga okufunira eyo obujanjabi.
Alipoota ziraga nti government buli mwaka esaasaanya obuwumbi obusoba mu 300 okujanjaba abakulu mu government abaddukira mu malwaliro g’ebweru okufuna obujanjabi obw’omulembe obutali mu malwaliro gawano, nga zino zisobola okuzimba amalwaliro ag’omulembeze 10 buli mwaka.#