Police e Luweero eri ku muyiggo gw’abapakasi abagambibwa okuba nti batemudde mukama wabwe eyaluddewo okubasasula omusaala.
Police egamba nti ettemu lino libaddewo ku ssaawa nga ttano n’ekitundu ezokumakya ga 09 August,2023, abakapasi bakakanye ku mukama wabwe ayitibwa Kyayagadde Yudah ow’emyaka 47 ne batemulira ku farm ye esangibwa ku kyalo Namakofu mu ggombolola ye Zirobwe mu district ye Luweero.
Twiinamazima Sam omwogezi wa police mu bendo bendo lye Savana atagezeza nti okunonyereza okukoleddwa kulaga nti abapakasi babadde babanja Kyayagadde Yudah omusaala ogw’emyezi egiwera, nti era baludde nga bamubanja naye nga tabasasula
Twiinamazima Sam ategezeza nti police eriko ebissi byezudde abatemu byebakozesa mu ttemu lino ng’okunonyereza bw’ekugenda mu maaso
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico