Omuwendo gw’abantu gulinnye okuva ku bantu 15 abaasooka okulangirirwa abaafiirawo mu muliro ogwakwata emmotoka y’amafuta eyagwa e Kigoogwa Matugga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ggulu.
Oluvannyuma lwa police okwekebejja endagabutonde n’okufulumya alipoota, kati abantu baweze 24.
Akabenje kano kaagwawo ku Tuesday nga 22 October, ku ssaawa nga zigenda okuwera kkumi ez’olweggulo, emmotoka esaabaza amafuta bweyalemerera omugoba waayo neyerindiggula ekifo.
Omugoba wa mmotoka yajibuukamu nga yakagwa, wabula amafuta olwatandika okuyiika abant nebaleeta ebidomola nebatandika okwesenera ku mafuta.
Wayitawo akaseera kano omuliro negubwatuka ku mmotoka omuliro neggutta abantu abaali basena amafuta, n’abalala abaali bali mu maduuka gabwe, ne mu nnyumba eziriraanyeewo amafuta gyegaali gakuukutidde.
Emirambo gyafuuka bisiriiza, ekyaleetawo obuzibu bw’okukukaksa abantu abatuufu abaali bafiiridde mu muliro guno, n’okukakasa ab’oluganda lwabwe.
Akulira eby’obulamu mu Police Dr. Moses Byaruhanga agambye bamaze okwekebejja endagabutonde, nebazuula ng’abantu 24 bebaafiira mu muliro guno, abasajja 17, abakyala 6 n’omwana omu.
Wabula Dr. Byaruhanga agambye nti waliwo amagulu g’abaana basatu agatanazulwako bannyini baana abo, era tewannavaayo bantu bategeeza nti baabwe, basobole okuggyibwako endagabutonde.
Abantu abalala abaakunganidde ku ggwanika ly’eddwaliro e Mulago abasinga baanonye emirambo gy’aboluganda lwabwe, bagenze babaziike.
Abantu abalala abasoba mu 20 bakyali mu malwaliro bapooca.
Minister Omubeezi ow’amawulire n’okulungamya eggwanga Godfrey Kabyama agambye nti government ekyayigga ddereeva w’emmotoka eyavaako
Bisakiddwa: Lukenge Sharif












