Police ekutte abantu babiri bajiyambeko mu kunoonyereza kwetandise,ku kivuddeko omuliro ogukutte etterekero lya Ministry y’eby’obulimi n’obulunzi e Wandegeya.
Abakwatiddwa ye Ajambo Jerry ne Namusimbi Eunice nga bano bombi bavunaanyizibwa kukuyonja ku ministry eyo.
Omuliro guno gukutte ssaawa nga ttaano ez’emisana ga leero, ebintu ebiwerako bibengeye.
Mubaddeko eddagala ery’ebika ebyenjawulo omuli eryébisolo n’ebirime, fridge omuterekebwa enkwanso zébisolo, ebiwandiiko ebyómugaso bingi ddala omuli ebikwata kukunoonyereza okwenjawulo okukolebwa ministry nébiral
Police egamba nti abavunanyizibwa ku kifo kino batera okwokya kasasiro buli lwa Sunday.
ASP Jackson Karuhanga OC avunaanyizibwa ku kitongole kya police ekizikiriza omuliro Fire Brigade, ku kitebe kya police ekikulu, agambye nti ebbugumu eringi erivudde mu kasasiro abadde ayokebwa okumpi ne generator yandiba nga yavuddeko obuzibu.