Obwakabaka bwa Buganda bwanjizza Entebya y’ebyava mu nkola ya Luwalo Lwaffe ey’omwaka oguyise 2025.
Mu nkola ya Luwalo Lwaffe abantu ba Kabaka mwebayita okuleeta ensimbi Embuga, okuyambako mu ntambuza y’emirimu mu Bwakabaka.
Abantu ba Kabaka baaleeta embuga ensimbi Akawumbi kamu mu obukadde lwenda mu ataano mu busatu,mu emitwalo ataano mu ena mu enkumi ttaano mu bina (1,953,545,400/=).
Ensimbi zino zeeyongeddeko n’ebitundu 16% okusinziira ku zaaleetebwa mu mwaka 2024.
Bwabadde ayanjula entebya eno mu Bulange e Mmengo, Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa yeebazizza nnyo abantu ba Kabaka olw’obunyiikivu n’obujjumbize.m ate n’obwagazi bwebongedde okulaga eri Obwakabaka bwabwe.
Owek. Nsibirwa alaze ebiwagidde enteekateeka eno okweyongera omuzinzi;
-Ssaabasajja Kabaka okusiima naalonda Abatongole, n’Abeemiruka ne bongera okutuuka obutereevu ku bantu eyo gyebawangaalira.
-Ensimbi ezireetebwa mu Luwalo okusaasaabyizibwa ku nteekateeka z’Obwakabaka ezaanukula obwetaavu bw’abantu ssaako obwerufuobulagibwa ku nkwata yaazo obweyolekera mu ntebya.
-Obunyiikivu n’obuyiiya mu minisitule ya Gavumenti ez’ebitundu.
-Obuyiiya n’obumu bw’abaami ba Kabaka ssaako empuliziganya ennungi ne minisitule ebatwala.
-Enkolagana y’abakulembeze b’Obwakabaka n’Abakulembeze abalala.
Abaaleeta Oluwalo
Omwaka oguwedde, abantu Abaakiika mu Nkola ya Luwalo Lwaffe baali mu biti 10; okuli Eggombolola, Amasaza ga Buganda Ebweru wa Uganda, Amasaza ga Buganda agali ebweru wa Buganda.
Ebitongole by’obukulembeze mu Bwakabaka, Ebibiina bya Buganda eby’enjawulo nga Nkobazambogo, Amasomero n’Amatendekero, Enju ezivaamu abaami n’abaweereza mu Bwakabaka.
Ebibiina by’obufuzi mu Uganda, Abagenyi ab’enjawulo mu kkakkalabizo lya Katikkiro n’Abantu ssekinnoomu.
Essaza n’eggombolola agaasiinga
Mu nteekateeka eno, Essaza Kyaddondo lyeryanywa mu masaza gonna akendo n’ensimbi 406,541,100=.
Buddu yakwata kyakubiri yaleeta obukadde Obusoba mu 300, Busiro yakwata kyakusatu n’obukadde obusoba mu 200 naamala negagoberera.
Eggombolola Mutuba II Makindye yeyakira ku ggombolola endala, yaleeta ensimbi 80,255,500=.
Ensasaanya y’ensimbi
Owek. Nsibirwa ategeezezza nti ensimbi zino zaasaasanyiziddwa ku bino;
Okutandikawo amasomero g’abaana abati mu masaza 13, gaasaasaanyizibwako ensimbi 319,405,000=.
Okugula ebikozesebwa n’okutandika okuddukanya eddwaliro lya Muteesa II e Busimbi Ssingo , lyasaasaanyizibwako ensimbi 196,151,534=.
Okuwagira omulimu gw’okumaliriza Amasiro g’e Kasubi gwasaasaanyizibwako ensimbi 471,244,341=.
Enteekateeka ya Mmwanyi Terimba yasaasaanyizibwako ensimbi 37,118,000= nga mwalimu Katikkiro okulambula abalimi mu masaza ag’egenjawlulo.
Enteekateeka z’okuzimba ekisaawe ky’omupiira eky’essaza Buddu mu mukago Buganda gwerimu ne EACOP yasaasaanyizibwako ensimbi 94,000,000= nga zino zaasasulwa abakubi ba pulaani, okwerula empenda, okwekenneenya ettaka, okusasula NEMA ne Masaka City Council n’ebirala.
Enteekateeka z’ebyobulamu zaasaasanyizibwako ensimbi 43,211,852= zikozeseddwa okuwa abantu ba Kabaka obujjanjabi.
Okuvujjirira ensawo ya Kabaka Education Fund Obwakabaka bwateekamu ensimbi 55,583,650= nga zino ziyamba abaana ba Buganda okufuna ebyenjigiriza ku mitendera okuli Primary, Secondary n’amatendekero ag’awaggulu.
Okuteekateeka Oluwalo kwassibwamu ensimbi 88,810,000=.
Okukola emirimu ku Ggombolola 10%, 195,354,540=.
Okukola emirimu mu Masaza Commission wa 3%, 48,649088=.
Okusembeza abaleeta oluwalo (Okubawa ekyemisana) 142,010,000=.
Okukubisa Certificate n’ebigenderako 262,007,395=.
Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu era avunaanyizibwa obutereevu ku nsonga eno, Owek. Joseph Kawuki yeebazizza nnyo abaami n’abantu ba Kabaka bonna olw’okwenyigira mu Nkola ya Luwalo Lwaffe.
Owek.Kawuki asabye nti obunyiikivu okweyongera mu ngeri y’okukuuma Federo ey’ebikolwa, nga bwebalinda Federo ey’amateeka.
Omukolo gwetabiddwako Abaami b’amasaza, ab’eggombolola, ba Ssenkulu b’ebitongole n’abalala.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.













