Abantu 13 nga banju emu ku kyalo Kigaaju e Lwabenge mu district y’eKalungu baddusiddwa mu ddwaliro lya Kyamuliibwa Health Centre IV ku bigambibwa nti baaweereddwa obutwa.
Ekizibu kino kigudde mu maka ga muzeeyi Luhumuliza Joseph.
Ku Sunday nga 03 September,2023 waabaddewo omukolo ogwetabiddwako abomunju, muwala we bweyakyazizza abako, kyokka kigambibwa nti ebyokunywa naddala obushera obwagabuddwa ku mukolo guno kiteeberezebwa okuba nga bwebwavuddeko obuzibu.
Musumba Kabwogere Lawrence agambye nti mukyala we yeyasoose okukaaba olubuto, embiro n’okutanaka ekiro, kwekumuddusa mu ddwaliro.
Agamba nti baabadde bakatuuka mu ddwaliro nebamutegeeza nti n’abantu abalala bafunye obuzibu bwebumu, kwekufuna emmotoka bonna eyabanonyeeyo nebabatwala mu ddwaliro nebaweebwa ebitanda mu ddwaliro lya Kyamuliibwa H/CVI.
Abasawo ku ddwaliro bagambye abalwadde bonna batandise okukuba ku matu.
Bisakiddwa: Nsubuga Muzafaru