Government yakuwandiisa abantu bonna abeesimira enzizi ezaabwe mu maka gabwe, mwebaggya amazzi gebakozesa ewaka n’okunywesaako ebisolo, batandike okuzisasulira omusolo.
Akulira ekitongole ky’amazzi e Mubende Katerega Dickson ategezezza essaawa yonna ekitongole ky’eby’amazzi kyakutalaaga ebintu bya Mubende nga kiwandiisa abalina enzizi, olwo bagerekebwe omusolo gwebalina okusasula okusinziira ku bunene bwalwo.
Omusolo guno gusuubirwa okubeera wakati wa shs 500,000 n’akakadde ka shilling kalamba.
Bisakiddwa: Ssebuufu Baanabakintu Kironde