Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abalimi b’Emmwanyi abafunye Obukugu obwenjawulo okukwasizaako abatandika obutandisi, kibasobozese okufulumya Emmwanyi ezituukanye n’Omutindo.
Katikkiro abadde alambula abalimi b’Emmwanyi okubadde Omusawo eyawummula Darius Buule ne Kinywamacunda Razarus nga bano balina obungi bwa yiika ezisukka mu 100 mu Ssaza Kabula.
Agambye nti kiba kikyamu abafunye Obukugu mu kulima okutumbuka bokka,nebaleka abatannabufuna okubonaabona, n’okutta omutindo.
Asoose kutongoza ettabi lya CBS Pewosa e Lyantonde, n’akubiriza abantu okwenyigira mu bibiina by’obwegassi basobole okwekulakulanya.
Katikkiro mungeri yeemu alabudde abakozi mu yafeesi abalinda Omusaala gwokka, abasabye okukozesa ettaka lyabalina oba okweyazika okulirimirako n’Okulunda, liwone okutwalibwa bannakigwanyizi.
Minister w’Amawulire, Okukunga era omwoogezi w’Obwakabaka Owek Isreal Kazibwe Kitooke,asabye abantu ba Kabaka okukozesa ku bijimusa mu bulumi, n’Okusoma okumanya enkozesa y’Ettaka evaamu amakungula amalungi.
Kinywamacunda Razarus omuku balimi b’Emwaanyi mwennyamivu olw’abalimi obutayambibwa bitongole bya government Kimala, ekibaviiriddeko okufiirwa ebitagambika.
Katikkiro awerekeddwako ba Minisita; Oweek. Hajji Amisi Kakomo, Oweek. Noah Kiyimba, ne Oweek. Israel Kazibwe Kitooke.
Bisakiddwa: Kato Denis