Abakyala ba Buganda okuva mu masaza 4, Kyadondo, Busiro, Kyaggwe ne Kabula bakiise embuga mu nkola eya Luwalo Lwange nebagula satifikeeti za bukadde 12 mu emitwalo 33 (12,330,000/=) okuwagira emirimu egikolebwa obwakabaka.
Omumyuka wómukubiriza wólukiiko lwa Buganda Owek Ahmed Lwasa yatikudde abakyala oluwalo luno, ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo.
Essaza Kyadondo liguze satifikeeti ya bukadde 4,068,000/-, Busiro baleese obukadde 4,090,000/- , Kyaggwe obukadde 3,042, 000/- Kabula emitwalo 73 nabantu abalala sekinoomu nebagula ezabwe.
Owek Ahmed Lwasa asabye abakyala ba Buganda okwongera amaanyi mu kujjumbira enteekateeka zonna ezénkulakulana eziretebwa obwakabaka, omuli okwenyigira mu bibiina byenkulakulana, okuweerera abaana nébirala ate nabasaba nókukwata ku miti emito okubagaziza ennono n’obuwangwa.
Minister omubeezi owa government ezébitundu Owek Joseph Kawuki, asabye abakyala okulwana okutebenkeza amaka gabwe,naddala okwongera amanyi mukugunjula abaana.
Abamu ku bakulembeze ba bakyala abakiise embuga okubadde Nakatu Easter okuva e Kyaggwe ne Najjeero Resty okuva e Kabula,babuulidde Katikkiro nti abakyala bongedde amaanyi munteekateeka zókwerwanako okusitula embeera zabwe,newankubadde era bakyalina okusoomozebwa.
Ku lwábaami b’amasaza, omwami wéssaza Kyadondo Kaggo Agnes Nakibirige Ssempa, yebaziza abakyala bano okubeera ekyókulabirako eri abakyala abalala,n’abasaba obutaddiriza mu nteekateeka eno nti kuba ya nnono.