Abakyala okuva mu nzikiriza z’eddiini okuli eya ba Katoliki, aba Anglican n’aba Orthodox bakuηaanidde ku klezia ya ba Orthodox e Namungoona okwegayirira omukama abataase ku kusoomoozebwa kwebayitamu olutatadde.
Buli mwaka abakyala okuva mu nzikiriza ezo bakuηaana nebasabira wamu nga bakuza olunaku lwabwe olw’ensi yonna, olumanyiddwa nga World’s women day of prayer.
Balukuza buli lunaku lwa Friday oluddirira olunaku Lwa bakyala olukuzibwa nga 8. March.
Ssaabasumba wa orthodox mu Uganda Metropolitan Jeronymos Muzeeyi nga yaakulembeddemu okubuulira, agambye nti mwennyamivu olw’abantu abasusse okukola ebikolwa ebitali bya bwakatonda ebiviirako okulumya abalala, bwatyo naabasaba okwenenya kisobozese buli muntu okweyagalira mu nsi.
Abakyala nga Bakulembeddwamu Chairperson Christian women fellowship Archdeconary mu Namirembe Diocese, Kigongo Janet Mary beebazizza Katonda olwokubasitula eddaala wabula nebamusaba abalungamye kubanga bangi ku bbo beeyisa mu ngeri etasaanidde nga bakola emirimu gyabwe.
Ebikumi n’ebikumi bya bakyala okuva ku bitundu by’eggwanga eby’enjawulo byetabye mu kusaba kuno.
Obwakabaka bwa Buganda bukiikiriddwa minister w’ebyenjigiriza n’ebyobulamu era atwala offiisi ya Nnaabagereka Owek.Cotilda Nakate Kikomeko, ate government eyawakati ekiikiriddwa minister w’ebyettaka Judith Nabakooba.
Minister Nnaabakooba asabye amasinzizo gonna mu ggwanga okutereeza obusenze bwago ku ttaka kwegatudde, okumalawo abampembe abagufudde omuze okubba ettaka ly’amasinzizo.
Nabakooba era asabye abakyala okwettanira enkola za government ezateekebwawo okukulaakulanya abakyala naddala eya grow.
Minister wa Buganda ow’ebyobulamu, ebyengigiriza ne offiisi ya Naabagereka Owek.Cotilda Nakate Kikomeko, asabye abakyala okutumbula omutindo mu buli kyebakola.
Bisakiddwa: Ssekajjiijja Augustus










