Ekibinja ky’aakungu okuva mu Obusiinga bwa Rwenzururu nga bakulembeddwamu Amyuka Katikkiro wabwe Baritazare Kure Benson bagenyiwadde embuga mu Bulange e Mengo, okubaako ensonga zebeebuuza ku nkola y’emirimu mu nteekateeka gyebaliko ey’okuyitimusa Obusiinga.



Mwetabiddwamu akiikiridde Katikkiro, nga yemukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwaga Mugumbule ,Omumyuka owookubiri owa Katkikiro Owek Rotarian Robert Waggwa Nsibirwa ,Minister wa Bulungibwansi Obutonde bwensi n’ekikula Kya Bantu Oweek Mariam Mayanja Nkalubo ,Minister w’ebyenjigiriza ne byobulamu Owek Cotildada Nakate Kikomeko ,Minister w’obuwangwa n’ennono eby’obulambuzi n’a Masiro,Owek Anthony Wamala, Minister wa Cabinet ,Olukiiko ,Abagenyi n’ensonga ezenjawulo mu Woofisi ya Katikkiro.
Ssenkulu wa CBS Omukungu Michael Kawooya Mwebe agambye nti betegefu okuwa Obusinga amagezi ku ngeri y’okukulakulanyamu abantu be Rwenzururu ,omuli okuluηamya abantu, okunyweeza Obuwangwa n’Ennono.
Amyuka Ssenkulu wa kitongole kya Buganda Land Board Bashri Kizito Juma abanyonyodde nti ekitongole kyabwe kikola emirimu egyenjawulo omuli okusomesa abantu amateeka agakwata ku ttaka n’engeri yokulikuuma.
Amyuka Katikkiro wa Rwenzururu Baritazare Kure Benson agambye nti mu kiseera kino bali mukwezza Buggya, nti era baasazeewo okutalaaga eggwanga nga basisinkana abakulembeze ab’ennono okwebuuza n’okukoppa byebakola babayigireko.#
Bisakiddwa: Nakato Janefer