Abakulisitaayo mu kkanisa ya Zzinga Church of Uganda mu ggobolola ye Bussi mu district ye Wakiso batandiise kaweefube ow’okuzimba ekkanisa, oluvannyuma lw’emyaka 40 nga basabira mu bibiina by’essomero .
Bwabadde attema evuunike eryokutandiika okuzimba ekkanisa eno ku kyalo Kaaso, Ssabadinkoni we Entebbe Venarable Canon John Gitta Kavuma munteekateeka gyaliko eyokutalaaga ekizinga kino wamu n’okubuulira enjiri, akubiriza abakulisitaayo okwenyigira munteekateeka yokuzimba enyumba yakatonda emuweesa ekitiibwa.

Sentebe wa district ye Wakiso Dr Matia Lwanga Bwanika asabye abakulisitaayo muggombolola ye Bussi okwerwanako basobole okusitula ebitundu byabwe .
Bisakiddwa: Tonny Ngabo












