Okunoonyereza okwakoleddwa obwakabaka bwa Buganda okuyita ministry y’ekikula ky’abantu neby’obulamu nga bali wamu ne Ministry y’ekikula ky’abantu mu gwanga ne Ssetendekero wa Makerere kulaga nti abakozi naddala abawala ebitundu 100% ku 100% bakabasanyisibwa ku mirimu gyebakolera, nebatayambibwa.
okunonyereza kuno kwakoleddwa mu bitundu ebye Kawempe nga basinze kwekenneenya abakozi abakolera mu butale, amakolero ,abakozi b’awaka woteeri n’ebifo ebirala.
Victoria Namugala okuva mu Ssetendekero wa Makerere mu ssomero lya Women and Gender Studies omu kubakoze okunonyereza kuno agambye nti bazudde nti abakozi bangi abakabasanyizibwa teboogera olw’okwagala okukuuma omulimu gwabwe, abalala okusirika abakyala abawaka babagana okwogera ,abamu emisango bwejitwalibwa ku Police givulugibwa ,abalala tebamanyi wakuloopa.
Bino byanjuddwa mu musomo ogwategekeddwa obwakabaka bwa Buganda okubangula abantu ku ngeri gyebayinza okulwanyisamu okukabasanyizibwa ku mirimu,
gwetabiddwako abantu abenjawulo omubadde Police ,abakozi okuva mu Butale bw’omubuulo, obutale obwakazibwako erya tonninyira ,Abakozi ba waka, abakugu mukunonyereza ,Ministry y’ekikula kya bantu mu ggwanga nabantu abalala .
Bwabadde aggalawo omusomo gunonOweek David Kyewalabye Male minister w’ebyobuwangwa ennono ,embiri, obulambuzi n’okutumbula olulimi oluganda agamba nti ebitongole bya gavumenti birina okuteekawo obwenkanya nga bikola ku nsonga z’abantu abakabasanyizibwa basobole okuyambibwa, n’okumanyisibwa ebifa ku ddembe lyabwe.
Agambye nti n’eky’abakozi abamu okuba nga tebawebwa mabaluwa gabakakasa ku mirimu gyabwe naddala abakola awaka, kirinnyirira eddembe lyabwe.
Omusomo guno gwagguddwawo minisita w’ekikula ky’abantu, eby’obulamu, ebyenjigiriza ne wofiisi ya Nabagereka Owek Prosperous Nankindu Kavuma agambye nti buli kitongole mu ggwanga kyetaaga enambika eyetengeredde ku ngeri omuntu gyalina okuyambibwamu ng’akabasanyiziddwa, era nategeza nti oluvanyuma lw’okukola okunonyeraza kuno balina essuubi nti abakwatibwako bandibaako kyebakola okukyusa embeera.
Akiikiridde poliisi ASP Afande Francis Ogwanga asabye abakozi abakyala obutatya kwekubira nduulu eri abakwatibwako ensonga, singa babeera bakabasanyiziddwa era nabasaba okukolagana ne Police okuyambibwa.