Ababaka ba NRM abalonde abagenda okukiika mu parliament eye 12 batandise olusirika lwabwe lwebagenda okumalamu wiiki namba, mu kaweefube w’okuteekebwateekebwa okutegera engeri gyebasaanye okutembeeta emirimu gy’ekibiina mu parliament.
Olusirika luno lwetabiddwamu n’abakulembeze ba NRM ab’okuntikko aba Central Executive Committee ( CEC).
Basimbudde okuva ku kisaawe e Kololo neboolekera ebbanguliro lya government erya National Leadership Institution NALI mu district ye Kyankwanzi.
Okutendekebwa okutongole kutandika nga 08 okutuuka nga 15 April,2026.
Ssentebe wa NRM Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa, yeyabayita balambikibwe, okuli ababaka abalonde aba NRM 370 n’abatalina bibiina wabula nga bakolagana ne NRM.
Mu basimbudde okwolekera Kyankwanzi mwemuli ne president wa DP Nobert Mao, ng’ekibiina kye kyakola endagaano ne NRM okukolera awamu.
Mao yeyagaliza ekifo kyobwa sipiika bwa parliament ,era bwabadde asimbula ebigambo bye abiyisizza mu ngeri yakugerageranya ekinnyonyi ki ηηaali ekiri ku kabonero k’eggwanga, kyagambye nti singa kyali kimanyi obukulu bwakyo kyandisuzeenga mu State house, parliament ne kkooti.
Ababaka ba parliament eye 12 abagerageranyizza ku kinyonyi ekyo, naagamba nti singa bamanya obukulu bwabwe bandimuwadde akalulu nafuuka sipiika wa parliament okusalawo ensonga enkulu ezikwata ku ggwanga.
Bannamaggye abakulembera Kyankwanzi balina ebiragiro byebaawadde ababaka abagenze mu lusirika, teri kwetikka mwenge, tebalina kibeera na ssimu, laptops n’ebirala ebigwa mu kkoowe eryo.#












