Abaana 2 bafiiridde mu Nnamutikkwa w’enkuba akedde okufudemba mu gombolola ye Kituntu mu district ye Mpigi.
Abaana abafudde ye Muyomba George myaka 8 nr mutoowe Kisaakye Ndagire, ekisenge ky’ennyumba kibagwiiridde mu nkuba ng’efudemba ku kyalo Wattuba mu muluka gwe Kagenda.
Abatuuze abawerako ennyumba zabwe nazo zisigadde ku ttaka, saako ebitooke, emmwanyi n’ebirime ebirala bimenyese.
Emiruka egisiinze okukosebwa kuliko Kagenda,Butemba,Kasozi n’emirala.
Ssentebe w’ekyalo Butemba A Luyombya Micheal alaajanidde abakulu mu ministry y’ebigwa tebiraze babadduukirire.#