Obwakabaka bwa Buganda bugabidde abaami ba Kabaka ab’amagombolola pikipiki mu nteekateeka egendereddwamu okubayambako okutuuka ku bantu ba Kabaka yonna mu byalo gyebali, mu kawefube w’okubamanyisa ku kirwadde kya siriimu.
Abaami b’amagombolola 71 bebasoose okukwasibwa pikipiki.
Abaami b’amagombolola bonna abagenda okufuna pikpiki bali 174.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yakwasizza ab’amagombolola pikipiki mu Bulange e Mengo,bw’abadde atikkula oluwalo okuva mu ba ssentebe ba zi District abakiise embuga leero.
Katikkiro anyikizza obwetaavu bwenfuga eya Federo eggwanga bweryetaaga bwerinaaba lyakuwona
Minisita omubeezi owa government ez’ebitundu mubwakabaka Owek Joseph Kawuki, yennyamidde olw’enkola eyobugenderevu ey’okuwa abakulembeze b’ebitundu ssente okuva mu government eya wakati, ng’obudde buweddeyo obumalako omwaka, ekintu kyagambye nti kikosa enkola y’e mirimu.
Ssentebe wa ba Ssentebe ba zi District mu Buganda Fredrick Kasirye Zimula, anokoddeyo ekyobutaba na Buyinza nga ekimu ku bibasomooza ng’abakulembeze mu buwereza bwabwe, nga buli kimu babasalirawo bussalizi.
Ssentebe Zzimula naye akikaatirizza nti ekiseera kituuse Uganda efune enfuga eya Federo.
Bisakiddwa: Kibuuka Fred
#