Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye Abaami ba Kabaka ku mitendera egyenjawulo okwongera okunyweeza n’okukuuma eby’obugagga bw’Obwakabaka ne Kabaka naddala Ettaka, lireme kubbibwa bannakigwaanyizi.
Abadde asisinkanye Abaami b’Amasaza ga Buganda wamu naago agali ebweru wa Buganda ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo.

Owek Mayiga yebazizza Abaami ku mitendera gyonna abakuuma Ettaka ly’Obwakabaka, kyokka naasaba ebikyagaanye bikwatibweko mu nkola ennuηηamu bitereere.
Katikkiro ajjukizza Abaami ba Kabaka okunyweerera ku nnambika Entuufu okukolebwa emirimu gy’Obwakabaka.
Yebazizza abantu ba Buganda abajjumbidde Okulima Emmwaanyi ,nga bakungibwa Abaami ba Ssaabasajja omuli Abatongole, Abeemiruka, Abaamagombolola n’Abaami b’Amasaza.
Minister wa gavumenti ezebitundu era nga yavunaanyizibwa ku kulambula kwa Ssaabasajja Kabaka Owek Joseph Kawuki, asabye Abaami ba Kabaka okukozesa Obuyinza Ssaabasajja bweyabawa, batambuze emirimu gy’Obwakabaka era baleme kuswaaza Kitiibwa kye.

Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abaami b’Amasaza Kangaawo Ronald Mulondo nga akiikiriddwa Omwami wa Beene amukulembererako essaza Kabula Lumaama David Luyimbaazi.
Ku lw’Abaami b’amasaza yeeyamye Okuteeka mu nkola Obubaka obubaweereddwa, mu kunnyikiza Obuyinza Beene bweyabawa.
Bisakiddwa: Kato Denis











