Ekitongole ekinoonyereza ku misango ki Directorate of Criminal Investigation CID kiyise eyali Ssenkulu wa KCCA Dorothy Kisaka , omumyuka we Eng. David Luyimbazi Ssali n’eyali akulira eby’obulamu Dr. Daniel Okello okweyanjula ku Kitebe kya bambega kino, bakiyambeko mu kunoonyereza ku bigambibwa nti balagajjalira emirimu gyabwe.
President wa Uganda Gen.Yoweri Kaguta Museveni abasatu bano yabagoba ku mirimu, ku bigambibwa nti baalagajjalira emirimu gyabwe ekyaviirako abantu obasukka mu 30 okufiira mu kasasiiro eyabumbulukuka e Kiteezi.
President Museveni okubagoba yasinzira ku alipoota eyakolebwa Kaliisoliiso wa government,gyeyamulagira okukola oluvannyuma lwa kasasiro okubumbulukuka ku nkomerero y’omwezi gwa July 2024, naaziika amayumba g’abantu.
Emirambo 35 gyejaazuulwa, so nga kiteeberezebwa waliwo abantu abalala abaakuluggusibwa kasasiro, emirambo negitalabika.
President Museveni bweyali agoba abakulu mu KCCA yalagira ekitongole ekinoonyereza ku misango ki CID, kibanoonyerezeeko era kimuwe alipoota ku byekinaaba kizudde.
Ensonda zitegezezaa CBS nti abakulu bayitiddwa okulabikako ku kitebe kya bambega kino ku Wednesday nga 16 October,2024, era buli omu aweereddwa essaawa zize zaasuubirwa okweyanjulirako.#