Emirambo 22 gyejaakaziikulwa mu ttaka eryabuutikidde amayumba mu district ye Bulambuli nga 27 November,2024.
Ennyumba 45 ziteeberezebwa okuba nga zaaziikibwa ettaka, wabula omuwendo gw’abantu abaazirimu omutuufu tegumanyiddwa.
Ennyumba endala 220 zaaguddeko ebitundu endala zaasigazza ennyaafa, abantu 1,540 tebalina webaasigazza webegeka luba.
Abamu bagenze mu banganda zabwe babudameko eyo, ate abalala basula ku ssomero lya Masugu Primary School.
Okusinziira ku kitongole ekidduukirize ekya Uganda RedCross Society, bakkaawonawo 31 bebaakazuulwa, era kati babudamiziddwa mu nkambi eyakubiddwa e Bunambutye.
Waliwo abaakoseddwa abali mu malwaliro erye Buluganya H/C IV ne Muyembe H/C IV.
Government ya Uganda yawaddeyo obukadde bwa shs 5 ziyambeko mu kuziika, eri buli eyafiiridde mu njega eno, ne million emu ku buli muntu eyakoseddwa.
Amyuka omwogezi wa Uganda RedCross Society agambye nti essira balitadde kukulambula ebifo ebiri mu katyabaga k’okubumbulukuka, nga basomesa abantu okwamuka ebifo ebyo, nga bakolera wamu ne wofiisi ya Ssaabaminister wa Uganda..
Okusinziira ku minister omubeezi ow’ebigwa bitaraze Lillian Aber, buli maka gakuweebwa ettaka eddala yiika 2 n’obukadde bwa shs 17, ez’okutandika obulamu obuggya mu bitundu ebirala ebyassibwawo okubasengulira eyo.