Omukulembeze wekibiina Kya National Unity platform Robert kyagulanyi Ssentamu Bobi wine agobye Abe byokwerinda abamuweredwa akakiiko ke byokulonda nga agamba nti bano batandikidde mu kumutulugunya atenga babamuwadde kumukuuma.
Kyagulanyi Ssentamu Bobi wine agambye nti alaina obukakafu nti abamu ku basirikale abamuwereddwa, ate kwekwabadde abamufuuyidde kamulali mu maaso, bweyabadde akwatiddwa oluvanyuma lwekwewandiisa okuvuganya kubwa president e Kyambogo, era ebigendererwa byabwe byandiba nga byakumutuusaako bulabe.
Mu lukungaana lwabanna mawulire olwatudde ku kitebe kye kibiina kino e Kamwokya ssabawandiisi wekibiina kino Lewis Rubongoya yagambye nti ebisago ebyatuuse ku mukulembeze waabwe, obukuumi bwaba police bano tebwetaagisa.
Ono yagambye nti bamaze okuwandikira akakiiko ke byokulonda nga bagala basigaze obukuumi bwabwe kuba kyagulanyi tabwetaaga olwebyamutuusidwako.
Ono era alangiridde nti manifesto ye kibiina basazeewo kujisomera Mbarara kulwokutaano lwa sabiiti Eno oluvanyuma lwabakuuma ddembe okubalemesa okujisomera e Kampala olunaku lwe gulo.