Abayizi abasoma obusawo mu matendekero ga gavumenti egenjawulo bakonkomalidde mu bibiina, olwokukosebwa kw’abasomesa baabwe abali ku keedimo koobutaddamu kukwata ku nnoni okutuusa nga gavumenti ekoze kunsonga zaabwe omuli neemisaala.
Abayizi mu ssetendekeero okuli Gulu, Makerere, namatendekero amalala ga gavumenti agasomesa ebyobusawo ku mitendera egyenjawulo bebasinze okukosebwa mu mbeera eno, naddala abo abaalina okudamu okusoma okutandika n’olwomukaaga lwa sabiti- ewedde.
Ssetendekero ezimu zaali zaateekawo olw’omukaaga nga 3, abayizi okutandika okudamu okugenda ku matendekeero okwetegekera olusomesa ssonga mu bibiina baakutandika mu butongole ku bbalaza ewedde nga 5.
Wabula byabadde biribityo, bbo abasomesa baabayizi bano abasoma obusawo nebalangirira nti ssibakuddayo mu masomero okusomesa okutuusa nga gavumenti ekoze kunsonga zaabwe essatu zebajiwa okuli emisaala emitoono, banabwe mu matendekero gobwananayini okudamu okuyitibwa ate basasulwe nabo emisaala gyabwe, nokubafunira ebikozesebwa okwetangira okukwatibwa ekirwadde kya Covid 19 nendwadde endala mu malwaliro ebimala.
Ssentebe waba Guild president mu ssetendekero za gavumenti zonna era guild president wa university ye Gulu, Robert Mukembo, ategezezza nti embeera eno eriwo tegenda kusobozesa bayizi kumaliriza misomo gyabwe mukadde keetagisa, nokutuuliramu ebigezo ssonga abayizi bamaze emyezi 6 nga amatendekeero maggale.