Kkooti e Kayunga ekakasizza obuwanguzi bwa Harriet Nakwedde ku kifo ky’omubaka omukyala owe district ye Kayunga.
Omulamuzi wa kkooti ento e Kayunga, John Francis Kaggwa agobye omusango ogwatwalibwayo, Jackline Birungi Karangwa, muwala wa ssentebe wa NRM e Kayunga, Moses Karangwa nga awakanya ebyava mu kulonda okwaliwo nga 15 January,2026.
Birungi abadde ayagala akalulu kaddemu okubalibwa.
Kkooti ekizudde nti DR Form, Birungi zeyatwala mu kkooti zaali tezikakasiddwa kakiiko ka bya kulonda, era kyekivuddeko omusango okugobwa.#











