Omubaka wa Butambala Mohammad Muwanga Kivumbi asimbiddwa mu kooti e Gombe mu Butambala, naggulwako emisango gy’obutujju n’okukuma omuliro mu bantu.
Amagye n’abebyokwerinda okuva mu bitongole ebyenjawulo babadde bebulunguludde kooti ento etuula e Butambala,era nga tebakkiriza muntu wabulijjo kuyingira mu kitundu ekyo.
Ku ssaawa munaana n’ekitundu Muwanga Kivumbi aleeteddwa mu kooti ng’akutte akaveera kakiragala kaabadde ataddemu engoye ze.
Kivumbi abadde mu maaso g’omulamuzi Ssejjemba Deogratius mu kooti etudde e Gombe mu Butambala.
Okusinziira ku mpaaba etwaliddwa mu kooti eyo ekulirwa Omulamuzi Ssejjemba Deogratious, Omubaka Muhammad Muwanga Kivumbi ngali wamu nebanne abalala abakyalira kunsiko, nti wakati w’ennaku zomwezi 11 ne 17 January, 2026 nga basinziira mu bitundu ebye Kibibi wamu ne Gombe mu Butambala, baategeka enkwe ezagenderera okutabangula eggwanga.
Empaaba era eraze nti ebimu kubyebaakola mwalimu okulumba ekitebe kya police ye Kibibi, okugezaako okulumba ekifo ekigattirwaamu Obululu e Gombe, okuziba oluguudo, okwonoona emmotoka 7, gattako n’okukola effujjo eryaviirako abantu 7 okufa n’abalala nebalumizibwa.
Mukusooka, kooti eyimiridde okumala ekiseera kya ssaawa nga nnamba oluvannyuma lwa Muwanga Kivumbi okusaba kooti esooke emuweemu obudde bannamateekabe bamale okutuuka.
Kyokka bannamateeka baluddewo okutuuka era kooti bwezzeemu okutuula, Muwanga Kivumbi abuuzizza ekimuvunaanya ngaate ye ng’omuntu yeyatuusibwako effujjo eryo okuva eri ab’ebyokwerinda.
Mu kooti tewabadde bawagizi ba mubaka oyo wadde ab’oluganda.
Gyebigweredde nga Kivumbi emisango egimugguddwako gyabutujju, era omulamuzi naayongerayo omusango guno okutuuka nga 03 February,2026 lwanazzibwa mu kooti.
Muwanga Kivumba munna NUP ye Mubaka wa Butambala mu parliament eye 11, wabula yawanguddwa Erias Mukiibi eyazze obwannamunigina, era agenda okukiikirira Butambala mu parliament eye 12.#
Bisakiddwa: Sserugo Patrick