Omuntu omu akakasiddwa okufiira mu kirombe kya zzaabu ekisangibwa ku kyalo Kagaba mu town council ye Bukuya mu district ye Kassanda, ettaka bweribumbulukuse neribuutikira empuku mwebabadde bagenze okuyikuula Zzaabu.
Omugenzi ye Manishimwe Yokaana nga munnansi wa Rwanda.
Kigambibwa nti mu kinnya abaddemu nabalala 18 kyokka abamu basobodde okwetaasa mu bwangu, wabula Manishimwe
ne banne abalala basatu nebawagamirayo.
Police evunanyizibwa okukuuma ebyobugagga ebyomuttaka yayitiddwa bukubirire okutaasa embeera, era wetuukidde nga ku basatu ababadde bawagamidde mu mpuku, babiri basangiddwa bakyassa era bbo nebataasibwa era ne baddusiddwa mu ddwaliro e Bukuya okufuna obujjanjabi.
Ayogerera Police mu bitundu bya Wamala ssp Lameka Kigozi agambye nti Police ekyanoonyereza okuzuula ekiviiriddeko empuku eno omusimwa zzaabu okubumbulukuka.
Bisakiddwa: James Kaana Ssemuguzi










