Entambula ya bunkenke ku luguudo oluva e Kabaale okwolekera distristrict ye Kisoro, oluvanyuma lwÉttaka okubumbulukuka neriziika Oluguudo.
Nnamutikkwa wÉnkuba afudembye mu kitundu kye Kanaba, abebyokwerinda webakeberera ebidduka, yaviiriddeko ettaka okubumbulukuka neriggala oluguulo.
Tewali muntu yenna akoseddwa wadde ekidduka, era abavunaanyizibwa ku kuddaabiriza enguudo batandise okusenda Ettaka nÁmayinja ebiyiise mu luguudo.
Allan Ssempeebwa omu ku bavunaanyiziibwa ku byempuliziganya mu ministry yÉbyentambula, asabye abagoba bÉbidduka abakozesa oluguudo luno okubeera abegendereza nga bagenda mu kitundu ekyo, okwewala okuleeta obubenje.
Bisakiddwa: Kato Denis












