Omumbejja Diana Balizzamuggale Teyeggala aterekeddwa mu Masiro e Kasubi nga 22 December,2025, nga yafiiridde ku myaka 59 egy’obukulu.
Omumbejja Balizzamuggale Teyeggala yoomu ku baana ba Ssekabaka Muteesa II, era taata wa Kabaka Mutebi II.
Omumbejja yabula mu kiro ekyakeesa ku lwomukaaga nga 20 December, 2025 mu ddwaliro e Kisubi.
Wasooseewo okusaba mu kanisa ya St.Andrew’s e Nabulagala Kasubi.
Oluvannyuma naatwalibwa mu masiro e Kasubi.
Okusaba kw’okuziika kukulembeddwamu Omulabirizi w’e Namirembe Rt. Rev Moses Bbanja, ng’ayambibwako abaawule abenjawulo.

Ab’olulyo Olulangira, Abaami ba Kabaka nga bakulembeddwamu Katikkiro Charles Peter Mayiga, Abakungu n’emikwano egy’enjawulo bazze mu bungi okumuwerekera.
Ayingiziddwako mu nnyumba Muzibwazaalampanga, omugalamidde Kitaawe Ssekabaka Muteesa II, ne ba jajja be era ba Ssekabaka 3.

Oluvannyuma afululumiziddwa naaterekebwa ku kiggya, ekiriranyeewo ewaterekebwa abambejja n’abalangira.












