Omukulembeze w’Ekibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi wine akiise embuga mu Bulange e Mengo, mwasisinkanidde Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga n’Abakulembeze mu Bwakabaka abalala.
Kyagulanyi Ssentamu yesiimbyewo avuganya ku kifo kya president wa Uganda, mu kalulu ka 2026.

Robert Kyagulanyi Ssentamu atambudde naakulira Oludda oluvuganya government mu parliament Joel Ssenyonyi Besekezi, n’abakulembeze ba NUP abalala.
Kyagulanyi ne Katikkiro basoose mu nsisinkano eyenjawulo mu wofiisi ye, n’oluvannyuma neboolekera mu bimuli bya Bulange, ewakuηaanidde bannaNUP abalala.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asinzidde ku mukolo guno, naawa Kyagulanyi amagezi okwongera okufaayo okutegeera ebintu ebikwata ku kitundu Buganda mwasibuka, olwo lwanaasobola okwaηaanga obulungi buli kusoomoozebwa okumutuukako, n’okusobola okukulembera obulungi abantu.
Akubirizza abavubuka okwewala okumala googera bigambo ebitaggya nsa ku mitimbagano, nokwewala okwogera ebintu ebiyiinza okubefuulira nga bakuze oba okubasubya obukulembeze.
“Oyinza okwogera ekigambo leero ne kikufiiriza obukulu mu myaka kkumi okuva kati” – Katikkiro Mayiga
Mu ngeri yeemu Katikkiro asabye abegwanyiza entebe yÓbukulembeze bwÉggwanga okufuba okukuza omwoyo gw’Obwa sseruganda nga bagatta abantu, mu kifo ky’okubaawulayawulamu.
Katikkiro asabye abakulembeze okufaayo ennyo ku nsonga ssemasonga Obwakabaka kwebutambulira, kuba zezitambulirako enkulaakulana eyÓmuggundu.

President wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine , ategeezezza Katikkiro nti bakyali bawulize eri Ssaabasajja Kabaka n’Obwakabaka.
Robert Kyagulanyi Ssentamu era yebazizza Obwakabaka olwÓkuzza essuubi mu bantu baabwo ne banna Uganda bonna, nga butumbula Enkulaakulana etambulira ku bulimi nÓbulunzi.

Akulira oludda oluvuganya government mu parliament Joel Ssenyonyi ategeezezza nti ng’abakulembeze mu NUP baakunyweeza ensonga ssemasonga Obwakabaka zebutaddeko essira, Omuli n’Okubanja ebintu bya Buganda okuva mu government eya wakati.
Joel Ssennyonyi avumiridde enkola y’Abaserikale mu ggye lya UPDF abalemesezza abakulembeze ba NUP okutuuka ku Mbuga Enkulu, naabasaba baleme kwesiba mu byabufuzi bakuume emirembe.

Bannakibiina kya NUP abaweebwa kaadi okuvuganya ku bifo ebyenjawulo beyanjudde eri Katikkiro.
Bisakiddwa: Kato Denis












