Obwakabaka bwa Buganda bulangiridde nti okuzzaawo Amasiro ge Kasubi kuwedde, oluvannyuma lw’Emyaaka egisukka mu 12 nga gazimbibwa.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter yalangiridde Obuwanguzi buno, ng’asinziira mu Masiro e Kasubi.
Katikkiro yebazizza abantu ba Buganda , gavumenti ya Ssaabasajja, government eya wakati ne bannamukago omuli government ya Japan, olwokukwasizaako Obwakabaka mu kuzzaawo Amasiro gano.
Katikkiro ategeezezza Obuganda nti Okuzzaawo Amasiro gano tekubadde kwa kimpatiira, Olw’Obulombolombo obubadde bulina okugoberera, nga tebwetaaga kupapa.
Obuwumbi bwa Uganda obusoba mu
13 bwebusaasaanyiziddwa ku mulimu guno, nga kuno kuliko ensimbi ezaava mu nkola y’Ettoffaali, mu gavumenti eya wakati ,Eggwanika lya Buganda n’Abantu ba Kabaka kko ne bannamikago b’Obwakabaka, omuli ne gavumenti ya Japan.
Minister w’Obuwangwa, Ennono ,Embiri n’Ebyokwerinda Owek Dr Anthony Wamala, ategeezezza nti bingi ku bitaali mu Masiro gano nga bituukanye n’Omutindo gw’Ebyobulambuzi mu Nsi yonna biwedde okussibwako, ng’ekisigadde kyokka kwekomola Ekisasi.
Katikkiro w’Amasiro ge Kasubi David Nkalubo,yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’Amaanyi gaatadde ku Mulimu guno, omuli n’Okulonda Olukiiko olugazzizzaawo olukulembeddwamu Owek Hajji Kaddu Kiberu.
Commissioner mu kitongole ky’Ebyobulambuzi mu government eya wakati Jackline Nyirakiiza Besigye , agambye nti government yakusigala ng’ekwasizaako Obwakabaka ,okulaba nga buli kimu kitambula bulungi.
Amasiro gano age Kasubi gasaanawo oluvannyuma lw’okwokebwa Omuliro abatamanyaηηamba nga 16/3/2010 ku ssaawa bbiri n’Ekitundu ezeekiro.
Bisakiddwa:.Kato Denis












