Ekigo kya St.Balikuddembe Buloba kikuzizza emyaka 11 bukyanga kitondebwawo, kyakutulwa ku parish ye Busega mu 2014.
Emikolo emikulu giyindidde ku klezia e Buloba ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mityana.
Ssaabassumba w’essaza ekkulu erye Kampala Paul Ssemogerere yakulembeddemu emissa, neyebaza bannabuloba okulaga omutindo mu byebakola era ebiweesa Katonda ekitiibwa..

Ku lunaku luno olwa nga 16 November,2025 ekelezia Katulika era kwebadde kwejagulizza olunaku lw’okwefumiitiriza ku bwavu n’abaavu, nagamba nti buli muntu alina obusobozi okwerwanako okuvvuunuka obwavu, neyennyamira olw’abantu abagayaala okulwanyisa obwavu.
Awadde eky’okulabirako nti wadde mu kiseera kino abantu banyiikidde okusiimba emmwanyi okulwanyisa obwavu, nti naye waliwo abakyesuulirayo ogwannaggamba.
Mu ngeri yeemu Ssaabasumba yennyamidde olw’omuwaatwa ogweyongera okugaziwa wakati w’abagagga n’abaavu mu Uganda, naagamba nti abalina bebatono ate balina nnyo, ate abatalina bebangi era nga baavu nnyo ekireetawo obutali bwenkanya mu ggwanga.
Agambye nti ekyennyamiza bebalina ensimbi ennyingi okuba nga bagenda kutuuka nga baswala n’okuswala okuba nga balina nnyo, sso nga badibadde bazeeyagaliramu bweyagalizi.

Ekigo kye Buloba kikulirwa Bwanamukulu Rev.Fr.Paul Ssembogga ng’ayambibwako abasosolodooti abalala 3, kirina ebisomesa 8 n’obubondo bungi ddala.
Mu zimu ku nteekateeka ezikolebwa okufunamu ensimbi ezizimba ebisomesa ebyo, kye kyeggulo ekitegekebwa buli mwaka ng’ekyomwaka guno 2025 kyakubeerawo nga 05 December, nga kikulembeddwamu ekisomesa ki Bwotaansimbi, ate ekya 2024 kyakulemberwamu Kikaaya.#












