Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye bannamikago b’Obwakabaka mu biti ebyenjawulo, abaliko kyebaakoze mu kusitula embeera z’Abantube okwetoloola Obwakabaka.
Empologoma obubaka ebutisse Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, mu nsisinkano y’Obwakabaka ne bannamikago baabwo ku Four points by Sheraton hotel mu Kampala.
Beene agambye nti Okwolesebwa kwa Buganda kwakwongera okuwa essuubi ssinga Abantube babeera mu mbeera ennungi, ey’Ebyobulamu, Ebyenfuna, Ebyenjiguriza n’Engeri endala bannamikago kwebasimbye amakanda.
Ssaabasajja alagidde enkolagana ne bannamikago ereme kuba ya nsimbi zokka wabula n’Obuweereza obwetoloolera ku kukuuma Obutondebwensi n’Obuweereza obwenjawulo.
Olukuηaana luno lugendereddwamu okukuba ttooci mu bituukiddwako mu nkolagana eziriwo wakati w’Obwakabaka ne bannamikago.
Lutambulidde ku mulamwa ogugamba nti “Emikago ku lw’okutumbula embeera z’abantu n’ebyenfuna byabwe”
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza bannamikago abatambudde n’Obwakabaka ebbanga lyonna, naasaba bannamikago abaggya beyunge ku Bwakabaka batambulire wamu.
Omumyuuka owookubiri owa Katikkiro Owek Robert Wagwa Nsibirwa era nga ye muwanika w’Obwakabaka, agambye nti bingi ebituukiddwako mu Nkolagana ya bannamikago n’Obwakabaka era nga waliwo essuubi okwongera okusitula Buganda.
Ali Balunywa ku lwa Airtel, emu ku bannamikago b’Obwakabaka agambye nti ebimu ku bituukiddwako mulimu okutumbula ebyempuliziganya, okutambuza ensimbi okuyita ku mitimbagano mu Bantu ba Kabaka, nekisinga Obukulu okulwanyisa obufere bwokumitimbagano.
Bisakiddwa: Kato Denis












