Olwaleero ennaku z’omwezi 13 November, lunaku lwa kwefumintiriza ku musipi ogussibwa mu mmotoka oba mu bidduka ebirala oguyitibwa Seatbelt.
Seatbelt y’emmotoka, musipi oguteekebwa mu mmotoka nékigendererwa ekyókutaasa abasaabalira mu mmotoka obutakosebwa nnyo singa emmotoka egwa ku kabenje ng’etambula.
Omusipi ogwo guyungibwa mu mmotoka ngékyakolebwa, nebagusibira ddala mu byuma bya mmotoka ebyómunda era kizibu okukutuka.
Dereeva oba omusaabaze bwe yeesiba seatbelt kimuyamba obutasagaasagana, yadde okusirittuka oba okuyitako naava mu ntebe singa mmotoka etomeregana némmotoka endala, oba dereeva nga yeekanze ekintu mu maaso naagikaka okusiba.
Bwóteesiba musipi ogwo kitegeeza kabaate kennyini, anti dereeva bweyeekanga ekintu kyonna oyinza nókuwammattuka mu luggyi nógwa wabweru.
Kale olwaleero lunaku lwakukujjukiza obuterabiranga kusiba musipi oba seatbelt ng’otudde mu mmotoka, okukendeeza ku kabaate akókugwa ku bubenje bwébidduka.
Bikuηaanyiziddwa: Katabira Daniel












