Ssabasajja Kabaka Empologama ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri obuganda, ku mupiira ogw’akamalirizo oguggalawo empaka z’Amasaza ga Buganda mu Kisaawe e Nakivubo.
Empaka z’omwaka guno ziggalwawo olwa leero nga 01 November,2025.
Batabani ba Mukwenda ab’e Singo battunka nabaana ba Luweekula abe Buwekula ku ssaawa Mwenda ez’olweggulo.
Ssaabasajja abadde yakakomawo okuva e Bungereza gy’abadde okumala wiiki ng’emu.
Katikkiro Charles Peter Mayiga n’Omulangira Jjunju Crispin Kiweewa bebamwanirizza ku kisaawe Entebbe, n’asiima okugenda okujja okuggalawo empaka z’amasaza.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akoowodde abantu bonna okujja mu bungi okubugiriza Empologoma.#












