Ekibiina ekiddukanya omupiira ku ssemazinga Africa ekya CAF, kikakasiza amawanga 12 agayiseewo okuvuganya mu mpaka za Women’s Africa Cup of Nations ezigenda okubeerawo omwaka ogujja 2026 e Morocco.
Amawanga gano gakakasiddwa oluvannyuma lw’omutendera ogw’okusunsulamu okukomekerezebwa olunaku lw’eggulo nga 28 October,2025.
Empaka zino zijja kuzannyibwa okuva nga 17 March okutuuka nga 3 April omwaka ogujja 2026.
Empaka zino zijja kubeera za mulundi gwa 16 nga zitegekebwa, era Morocco egenda kutegeka empaka zino omulundi ogw’okusatu ogw’omudiriηanwa.
Amawanga 12 kuliko abategesi aba Morocco, bannantameggwa b’empaka ezasembayo aba Morocco, South Africa, Ghana, Zambia, Algeria ne Malawi.
Abalala ye Cape Verde, Kenya, Tanzania, Senegal ne Burkina Faso.
Mu kusooka CAF yali eraze nti empaka zino zijja kwetabwamu ensi 16 okuva ku 12, kyokka CAF yamala n’eyimiriza enteekateeka eno.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












