Omusomo gw’obuwangwa n’ennono gutegekebwa Olukiiko lwa Bajajja Abataka Abakulu b’Obusolya, nga gutegekebwa buli mwaka neekigendererwa ekyokujjukiza abantu ba Kabaka engeri entuufu Omuganda gyalina okweyisaamu.
Ssentebe w’akakiiko akateesiteesi nga ono yaakulira ekika ky’e Ngabi Ensamba omutaka Lubega Magandaazi Looziyo Nsamba agambye nti omusomo guno bagutegese nga gwanjawulo nnyo, kubanga gugenda kubeeramu ebyokuyiga bingi nga kwotadde nabaana ba Buddo Ss okusanyusa abanaagwetabamu.
Agambye nti Omusomo guno essira gulitadde ku kubangula bazzukulu ba Buganda ku neeyisa entuufu mu maka, ng’emu ku nteekateeka ez’okutumbula obuntubulamu mu Bantu ba Kabaka.
Katikkiro w’ekika ky’e Mpindi Dr. Tonny Mukasa Lusambu asabye abazzukulu ba Buganda bonna okweyiwa mu bungi mu lubiri e Mango olunaku lwenkya beetabe mu musomo guno kubanga abataagwetabemu bagenda kufiirwa ebintu bingi.
Omusomo guno gugenda kutandika ku ssaawa bbiri ezokumakya ng’okuyingira kwa shs 20,000/=.
Mulimu abasomesa abenjawulo era nga ne Ssaabasumba w’eSsaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere agenda Kugwetabamu.
Bisakiddwa: Ssekajiija Augustus












