Munna Uganda Jacob Kiplimo azeemu okukola ebyafaayo bwamenye likoda mu mpaka z’emisinde gyabasajja egy’okutolontoka ebyalo ejiyindidde mu kibuga Chicago ekya America, egya Chicago Marathon.
Jacob Kiplimo olugendo aluddukidde esaawa bbiri, eddakiika 2 n’obusekonda 23.
Jacob Kiplimo awangudde munna Kenya, Amos Kipruto, eyabadde atunuliddwa ennyo mu kuwangula empaka zino nga Kiploma amusinzeeko edakiika emu n’ekitundu bwe busekonda 90 bwokka.
Munnansi wa Kenya omulala Alex Masai, ye yakutte ekyokusatu nga ye yaddukidde esaawa 2 nedakiika 4 noobusekonda 37.
Kiplimo kinajjukirwa nti lweyatandikira ddala okudduka empaka ez’engeri eno omwaka 2024 mu kibuga London ekya Bungereza, yakwata ekifo kyakubiri.
Mu mpaka z’abakyala eza Chicago Marathon, munnansi wa Ethiopia, Hawi Feysa yaaziwangudde, addukidde esaawa 2 n’eddakiika 14 nobusekonda 56.
Amudiridde addukidde essawa 2 nedakiika 17 nobusekonda 18, ate munnansi wa Tanzania, Magdalena Shauri akutte kyakusatu bwaddukidde esaawa bbiri nedakiika 18 n’obusekonda 3.#












