Wabaddewo okusaba okwenjawulo n’okujjukira omugenzi Benedicto Kiwanuka, eyali Ssaabalamuzi wa Uganda eyasooka.
Omukolo gubadde ku Pope Paul Hotel mu Ndeeba mu Kampala, gutegekeddwa ekitongole ky’Obwenkanya n’Eddembe eky’e Ssaza lya klezia ekkulu erye Kampala.
Wasooseewo emmisa okusabira omugenzi ekulembeddwamu omusumba w’e Masaka Serverus Jjumba.
Wabaddewo okukoleeza emisubbaawa okujjukira obulamu b’womugenzi Benedicto Kiwanuka ogwali ogw’ebibala n’ekitangaala.

Omusumba w’Essaza lye Masaka Serverus Jjumba, ayogedde ku mugenzi Benedicto Kiwanuka nga eyali omusaale ennyo mu kulwanirira abatalina bwogerero.
Omukolo gwetabiddwako Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, asabye nti ebyafaayo bya Uganda bikozesebwe abali mu buyinza okutondawo obwenkanya n’emirembe biyambeko okumalawo ekiyiwa musaayi n’okutulugunyizibwa kw’abantu.

Katikkiro agambye nti Obulamu bw’Omugenzi Benedicto Kiwanuka busaana bubeere ekyokuyiga eri ensi eno, naddala eri essiga eddamuzi mu Uganda.
Okusaba kwetabiddwako ba minister ba Buganda okuli Ssaabawolereza wa Buganda Owek.Christopher Bwanika, Owek.Noa Kiyimba n’owek. Israel Kitooke.

Dr. Spire Ssentongo era nga musomesa ku ssettendekero wa Makerere nga y’abadde Omwogezi owenjawulo, yennyamidde olw’Abakulembeze mu bifo ebisalirawo ensi eno abatalowoozezza ku mbeera ya buyinike abasibwa mu makomera n’Abantu baabwe gyebayitamu, byagambye nti ssabalamuzi Benedicto Kiwanuka yali tabikkiririzaamu.
Omukolo gutambulidde ku mulamwa ogugamba nti “Tusonyiwe ebibi byaffe, tuwe emirembe”

Father John Crysestom Maviiri nga naye abadde mwogezi owenjawulo mu kujjukira eyali ssabalamuzi wa Uganda, agambye nti eddembe eritaliiko bwenkanya ssi Ddembe, kwekusomooza ababivunaanyizibwako byonna okubikuuma okwekuba mu kifuba.
Loodi Meeya wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago ategeezezza nti Omugenzi Benedicto Kiwanuka yafiirira abantu bangi.
Benedicto Kiwanuka yazaalibwa nga 8 May,1922.
Kigambibwa nti yawambibwa okuva mu wofiisi ye, oluvannyuma lw’ennaku 4 nattibwa mu nkambi y’amagye e Makindye nga 22 September,1972, nga n’okutuusa kati omulambo gwe tegumanyiddwako mayitire.
Bisakiddwa: Kato Denis












