“Okuwangula kwaffe okutusobozesezza ebbanga lyonna era okunaatusobozesa okwaŋŋanga okusoomoozebwa kwonna, kuli mu kubeera abavumu okunyweza obumu, okuwuliziganya n’okwongera amaanyi mu kwagazisa abavubuka baffe Ebika byabwe”

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yatuusizza obubaka bino ku bataka era naabubasomera, mu lutuula lwabwe olubadde olw’enjawulo, lutudde mu Bulange e Mengo.
Olukiiko luno lubaddemu Abataka abakulu ab’obusolya ne ba Katikkiro baabwe, saako ba minister ba Buganda.
Omukubiriza wÓlukiiko lwÁbataka Abakulu bÓbusolya Namwama Augustine Kizito Mutumba, yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olwÓkulungamizibwa okwo.#











