Obwakabaka bwa Buganda busanyufu olw’enkolagana ennungi eriwo ne bannamikago ku mitendera egyenjawulo, abeetegese okukwasizaako Buganda ne Uganda mu kaweefube w’Okutumbula ebyenfuna.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bw’abadde alambula Kampuni enzimbi y’Amayumba ag’ekibanja mpola eya Fakhruddin mu kibuga Dubai, yebazizza aba kampuni ya Fakhuddin olw’Okutambulira awamu n’Obwakabaka mu Uganda ne mu Buwarabu, nebatuusa obuweereza obusukkulumu eri bannansi ate nebatafa ku kufuna nsimbi zokka.
Katikkiro mungeri eyenjawulo asabye bannamukago b’Obwakabaka ne Uganda yonna okufaayo ennyo ku Butondebwensi nga bakozesa tekinologiya ow’omulembe okubukuuma.

Ssenkulu wa kampuni ya Fakhuddin, Yousef Fakhruddin annyonnyodde nti ensangi zino tekinologiya akozesebwa mu kuzimba asobozesa obutondebwensi okukuumibwa obutiribiri nebutakosebwa.
Yousef Fakhruddin awaddeyo dollar za America 1000 ziyambeko mu kutambuza emirimu gy’Obwakabaka bwa Buganda.

Mu kusooka Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye Omu ku Basigansimbi abagundiivu Khalifah Ali Mubarak ,nameebaza olw’omukwano n’okwagaliza Buganda ebirungi.
Zaake Wannume Kibedi nga ye mubaka wa Uganda mu Kayondo kya Buwarabu, yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okukulemberamu enteekateeka ezikulaakulanya abantu.
Bisakiddwa: Kato Denis











