Obwakabaka bwa Buganda bulabudde gavumenti ku kulagajjalira Ennimi ennansi n’Obuwangwa ekiviiriddeko ennimi engwiira okwegiriisiza mu ggwanga, n’okufuula bannauganda abatali bamanyi.
Bwabadde aggalawo okwefumiitiriza ku lunaku lwÓkusoma Ebitabo mu Nsi yonna ku ssetendekero wa Muteesa the first Royal University e Mengo , minister wÓbuwangwa , Ennono , ebyokwerinda nÉmbiri Owek Dr Anthony Wamala, agambye nti obutamanya nnini nzaaliranwa kiviiriddeko Empuliziganya okubeera embi.
Owek Wamala asabye abazadde okubeera abasaale mu kusomesa Abaana Ennini zabwe naddala nga bali awaka, nti kino kyakubanguyiza nÓkutegeera Obulungi olungereza mu masomero.

Omukugu mu Lulimi Oluganda era omuweereza ku Radio ya Ssaabsajja CBS, Ssali Damascus Muzzukulu wa Mugema, asabye Abasomesa nÁbayizi bÓluganda oluviira ddala awaka okumanya nti Olulimi bwe Bulamu, nga atalulina talina kifo munsi eno.
Amyuka Cansala wa Muteesa the first Royal University Prof Vincent Kakembo ategeezezza nti mu kaweefube wÓkunnyikiza Okusoma nÓkuwandiika ennnimi okuli Oluganda nÓlungereza, ssettendekero wa Kabaka akoze kinene okubunyisa okusomesa Oluganda wano mu Uganda nÉmitala wa Mayanja.
Bisakiddwa: Kato Denis











