Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aweerezza obubaka obusaasira ab’enju y’omugenzi era abadde munywanyiwe, Omulamuzi Prof. George Wilson Kanyeihamba.
Obubaka bwa Ssaabasajja bwetikiddwa Omulangira Rev Daniel Kajumba, era ng’abukwasizza mulekwa Joel Martin Kanyeihamba.

Ebimu ku biri mu Bubaka, Beene agambye nti Omugenzi abadde mulwanirizi wa Ddembe ly’abantu Kayiingo, omukulembeze ate omuwabuzi ku nsonga ezenjawulo.
Maasomooji yebazizza Omugenzi Kanyeihamba olw’obumalirivu bwabadde nabwo ku nkulaakulana y’Eggwanga, agunjudde bannamateeka nkuyanja, ate ng’abadde ayagala nnyo Obwenkanya n’Amazima.
Nnyininsi awabudde abakulembeze abakyaali abato okuyigira kubikoleddwa Prof Kanyeihamba.

Oggwoto gukumiddwa mu makaage agasaangibwa e Buziga mu gombolola ye Makindye mu Kampala.
Yaliko minister mu government ya Uganda, yaliko omubaka wa parliament, yali mulamuzi wa kooti enkukkulumu, yoomu ku baabaga ssemateeka wa Uganda, yali musomesa w’amateeka era omuwandiisi w’ebitabo.
Yafa nga 14 July,2025 mu ddwaliro e Nakasero ku myaka 85 egy’obukulu.
Ebyafaayo:
Prof. George Wilson Kanyeihamba yazaalibwa nga 11 August,1939, ku kyalo Kinaba mu district ye Kinkizi esaangibwa mu kitundu kye Kigezi.
Yasomera ku Kigezi High School, Busoga College Mwiri ne Norwich City College.
Yafuna bachelor’s degree mu by’amateeka okuva mu Portsmouth University, ne Doctorate of laws okuva mu Warwick University mu Bungereza.
Prof. Kanyeihamba yaliko omulamuzi wa kooti ensukkulumu okumala emyaka 12, wakati wa 1997 okutuuka mu 2009.
Yali ssentebe w’akakiiko akaabaga Ssemateeka wa Uganda owa 1995.
Mu 2006, yalondebwa okutuula ku kooti ya Africa ewuliriza emisango gy’okulinnyirira eddembe ly’obuntu ( African court on human and People’s Rights).











