Olukiiko oluddukanya ttiimu y’essaza Gomba lukakasizza, Simon Gita, nga omutendesi ow’ekiseera ow’essaza lino okudda mu bigere bya Simon Ddungu ayasuddewo omulimu guno.
Simon Gita yaabadde omumyuka wa Simon Ddungu, era bamuwadde n’obuvunanyizibwa okwerondera omutendesi gw’agenda okugira ng’akola naye omulimu guno.
Ddungu yasuddewo omulimu oluvannyuma lwa Gomba okukubwa Busujju goolo 2 – 1 e Kakindu, so nga Ssese yajikuba 1 – 0 e Kabukasoke, ne Buddu nekuba 1 – 0 e Masaka mu mupiira ogwaggulawo empaka z’omwaka guno 2025.
Simon Ddungu abadde yakatendeka Gomba emyezi 3 gyokka, nga yali yalangirirwa ku butendesi bwa nga 18 March, 2025 n’abamyuka 2.
Ssentebe wa ttiimu ya Gomba, Andrew Musaasizi, akakasiza Bannagomba nti bakola buli ekisoboka okukomyawo omutindo gwa Gomba, era abasabye okunywerera ku ttiimu yabwe n’okuwaayo kyonna ekyetagisa Gomba okuddamu okuwangula.
Gomba egenda kudda mu kisaawe okuzannya ne Buluuli e Kabulasoke, ku Sunday nga 20 July,2025.#
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe













