Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza bannamawulire abakozesa Obuyiiya obwenjawulo okumanyisa bannansi ebiba bigenda mu maaso nebabayambako okubeera abamanyi.
Katikkiro abadde asisinkanye abatandisi b’Ebbanguliro lya bannamawulire erya Media Challenge Initiative mu wofiisi ye mu Bulange e Mengo.
Katikkiro agambye nti Obuyiiya naddala obutambulira ku mitimbagano bwanguya okubunyisa Amawulire ag’ensonga, kyokka naasaba abagavunanyizibwako obutakolera mu kucamuukirira, baweerereze mu bwenkanya n’Obwesimbu baganyulwe mu byebakola.
Katikkiro mungeri eyenjawulo yebazizza munnamawulire Devine Mercy Nalwanga, olwokusoosowaza Amawulire g’Obwakabaka ku mitimbagano, ekiyambye abantu ba Kabaka Okumanya ebiba bigenda mu maaso.
Munnamawulire Devine Mercy Nalwanga mu kwoogerakwe, yebazizza nnyo gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka, olwokukubiriza Abantu ba Kabaka okukola ennyo, nga bayita mu Kulima n’Okulunda, n’Okwagazisa Abavubuka Okusoma.
Omu ku batandisi b’Ebbanguliro lya Media Challenge Initiative Ivan Kimuli Kigozi, era nga yegwaanyiza ekifo ky’Omuvaka wa Parliament owa Kiboga East, agambye nti Omukisa gwebafunye nebeebazibwa Obwakabaka, gubongedde amaanyi mu byebakola naddala ebyekuusa ku Nnono n’Obuwangwa, okubimanyisa Ensi yonna.
Bisakiddwa: Kato Denis











