Minister omubeezi owa Kampala Kabuye Kyoffatogabye alabudde bannakibuga okwekeneenya ba kansala bebagenda okulonda mu kalulu akaggya aka 2026, baleme okulonda bantu abanoonya ebitambuliiso okugenda mu mawanga gabazungu okukuba ekyeeyo.
Minister agamba nti ba kansala abali eyo mu 20, government ekisanja kumpi ekimazeeko ng’ebasasula wabula nga tebatuula mu nkiiiko za KCCA wadde okukola emirimu egyabaloonza.
Kigambibwa nti bangi olwamala okulayira oluvannyuma lw’okulondebwa mu 2021, baddukira mu mawanga okuli Canada, America namalala okukuba ekyeyo, wadde ebiwandiiko byebateeka mu KCCA biraga nti baagenda kussoma
Minister Kabuye Kyoffatogabye agambye nti bangi abaali bagenda bakomyewo ekiseera kyakalulu bwekyatuuse, kwekulabira bannakibuga obutaddamu kulonda bantu abafanaana bwebatyo abasala bannakibuga ensawo
Olukiiko lwa KCCA olulimu ba kansala abali eyo mu 50 enfunda nnyingi lwesanze nga telutuula olwaba kansala obutabaawo.
Gyebuvuddeko, waliwo okukubagana empawa mu bakulu mu bekitongole ki KCCA ku Kiteeso ekyokuyimiriza okusasula ba kansala abo omusaala, wabula ensonga eno yagwa buttaka abakulu abamu bwebaagisimbira ekkuuli nti amateeka gaali tegakikkiriza.
Minister Kyofatogabye agambye nti ba minister ba Kampala bwebanaaba baweereddwa omukisa amateeka getaaga okukyusaamu abantu abebulankanyiza ku buvunanyizibwa obwabakwasibwa baleme kusasulwa nsimbi z’omuwi w’omusolo
Ba kansala a KCCA baweebwa omusaala oguli eyo mu million 3 nekitundu buli mwezi awamu n’ensako okusinziira ku mirimu egibaweebwa.
Waliwo ebigambibwa nti ba kansala abo olwamala okulayira, nebakwaata omusaala nebagusinga mu bank nebeeyongera ku byeeyo wadde ebiwandiiko byebaaleka mu KCCA biraga nti baagenda kusoma.
Bangi kwaabo abaali bagenda abamu bakomyeewo okwesimbawo mu bitundu gyebali ate abalala bakyuusiza bagenze mu bitundu birala.#












