Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu okutunulira abakulembeze abalina embavu era abasanidde okutekebwa mu bifo byobukulembeze, lwebajja okujjayo ebirubirirwa mu bitongole ebibawereddwa okukulembera.
Katikkiro agambye nti ebifo by’obukulembeze bisanamu abantu abalina obumanyirivu obwanamaddala, abasobola okukola emirimu egigyayo ekitibwa kyobukulembeze obubeera bubawereddwa.
Abadde ku mbuga enkulu ey’obwakaba Bulange Mengo, asisinkanye banna Rotary aba District 9213.
Bakulembeddwamu president wabwe Geoffrey Martin Kitaakule abadde azze okuwoza olutabaalo ku buvunanyizibwa buno obwamukwasiddwa.
Katikkiro agambye nti ekiyambye banna Rotarty okukyusa obulamu bw’abantu okwetoloola ensi yonna, batunulira nnyo abakulembeze abasobola okutuukiriza obuvunanyizibwa obubaweebwa.
Owomumbuga asabye abantu ba Buganda okukolera awamu emirimu, lwebaggya okusobola okutuukiriza ebigendererwa byabwe.
Omumyuka wa Katikkiro owokubiri era omuwanika wobwakabaka munna Rotary Oweekitibwa Robert Waggwa Nsibirwa agambye nti Rotary n’Obwakabaka bakusigala nga bakolera wamu okukyusa obulamu bwa bantu ba Kabaka, ne bannauganda okutwalira awamu.
President wa Rotary 9213 Geoffrey Martin Kitaakule, abuulidde Katikkiro nti enkolagana y’Obwakabaka nga banna Rotary ebadde yabibala byereere, era bakugenda maaso ne nteekateeka zonna ezigenderera okusitula embeera za bantu naddala abavubuka.#












