Club ya Vipers egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, mu butongole ekaansizza omuteebi munnansi wa Liberia, Mark Yallah, mu kawefube w’okwetegekera season ejja eya 2025/26.
Mark Yallah atadde omukono ku ndagaano ya myaka 2 ng’acangira Vipers FC endiba n’ekigendererwa eky’okugiyamba okuwangula ekikopo kya liigi omulundi ogw’omunaana.
Vipers nga be bannantamegwa ba liigi season ewedde ne Uganda Cup, bali munteekateeka ez’okuggumiza ttiimu eno okusobola okuvuganya obulungi mu mpaka za Africa eza CAF Champions League.
Mu ngeri yeemu Vipers yakaanya dda n’omuwuwuttanyi Enock Ssebaggala okubegattako okuva mu club ya NEC.
Vipers era eri munteekateeka ez’okukansa omutendesi omugya, oluvanyuma lwa batendesi 2 Fred Muhumuza ne John Luyinda Ayala ababadde bakolera ewamu season ewedde.
Vipers era yamala dda okwongezayo endagano za bazannyi Patrick Mboowa ne captain Milton Kariisa.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe













