Ekibiina kya National Unity Platform kitongoza enteekateeza zaakyo ez’okukwasaganya akalulu ka 2026, batandikidde ku kuηηaanya nsimbi ezinabasobozesa okutambuza kakuyege w’akalulu akajja aka 2026.
Akulembeze b’ekibiina kya NUP okwetoloola eggwanga lyonna,kwossa abawagizi b’akyo nabesimbyewo bakuηηaanidde ku kitebe e Kavule mu Kampala, okusonda ensimbi ez’okutambuza kakuyege w’abesimbyewo bonna ku kaadi y’ekibiina.
Kakuyege ono atongozeddwa Ssaabawandiisi w’ekibiina kino David Lewis Rubongoya, ategeezezza nti ekibiina kyabwe mu kiseera kino kyetaaga okutalaaga eggwanga lyonna,okutuusaako abantu obubaka bw’enkyukakyuka.
Rubongoya agambye nti ekibiina kikoze enteekateeka eno okuyambako ekibiina mu lugendo lwebalimu olw’okutwala obuyinza bw’eggwanga.
Agambye nti ekibiina kyetaaga obuwumbi bwa shs 9 okuwangula akalulu ka 2026
Bisakiddwa: Lukenge Sharif












